Akakiiko Akawi Ka Magezi

Rashid Bashir ye mukenkufu wa Abel Bliss mu bya masanyalaze n’okukola kompyuta wamu n’okukola obulamu ku ssettendekero erya Illinois, Urbana-Champaign, gyawereza nga dayirekita w’ekifo webakeberera obuntu obutono nga bulina amasanyalaze (Micro ne NanoTechnology Laboratory).Ye yatandika tekinologiya wa bioMEMS, ne tekinologiya w’obuntu obutono enyo nga bulimu amasanyalaze (nanotechnology) mu kukola ebikozesebwa mu bulamu. Ebimunyumira mulimu kwataganya bya bulamu n’okukola ebyuma okuva mutendera gw’akasasi okutuuka ku busasi obunji n’ebiyambako nga bikolebwa okuyamba okunonyerezebwa mu ku kola obulamu. Y’omu kubayiiya enkola eyamasanyalaze esangibwa mu tekinologiya wa Daktari apima obutafaali, awandiise oba ayambyeko okuwandika empapula ezisuka mu kikumi ezivudde mu by’okunonyereza, empapula kikumi abiiri, ezikozesebwa mu nkuŋŋana era aweredwa amabbaluwa agasuka mu 33 agakugira abantu abalala okugingirira ebintu bye. Akolera IEEE and AIMBE eby’okuyiiya.

Xuanhong Cheng abade muyambi w’omukenkufu wa P. C. Rossin mu kukola eby’obulamu ne sayansi w’ebintu ebikolebwa okuva mu mwaka gwa 2008. Alina diguli esembayo okugabirwa mu kola eby’obulamu okuva mu ssettendekero wa Washingston era y’omu ku bayiiya akantu ak’entogedde nga kaliko obuuma obutambuza amasanyalaze (microchip) k’obutafaari obukola abaserikale. Obwagazi bwe mu by’okunonyereza kwabulijo kuli mu by’enkulakulana y’okufuga n’okutogatooga ebiyiika eby’obulamu n’okebera obuntu obutono, okusingira ddala okutondawo tekinologiya asaniide okukeberebwa awo wooli.

Mehmet Toner ye mukenkufu ku Helen Andrus Benedict mu by’okulongosa (okola obulamu) mu ddwaliro eriri mu Massachusetts, essomero lya basawo ku Harvard. Amanyidwa ng’omu ku batandikawo ekulakulana y’ebikozesebwa okufuga n’okutogatooga ebiyiika mu malwaliro (clinical microfluidic tools) n’ebikozesa amasanyalaze amatono (microelectromechanical systems) ebitekeddwa mu nkola nnyingi mu bye ddagala ne by’obulamu bw’ensi. Y’omu ku bayiiya akantu ak’entogedde nga kaliko obuuma obutambuza amasanyalaze (microchip) ak’obutafaari era y’omu kubatandiseewo kampuni ezikola eby’obulamu eziwerako. Awandiise empapula ezisuka mu bibiri mw’ataano ezitali ngingirire ng’ate zakikugu, ye yayiiya layisensi era alina ezisuka mwasaatu, alina diguli esembayo okuva ssematendekero mu MIT.

Comments are closed.